Buli ayagala okusoma essaala eno ayimirire akyukire Katonda, era bwaba nga ayimiridde, bwatyo atunule ku dyo ne ku kkono nga alinga alindirira ekisa kya Mukamawe, Asinga bonna ekisa, era Omusaasizi:
Ayatule nti:
Ayi Ggwe Mukama ow’amannya gonna era Omutonzi w’eggulu! Nkwegayirira olwabo Ensulo ez’olunaku wenono yo ekutalabika, Ggwe agulumizibwa ennyo, nyini kitiibwa kyonna, okufuula essaala zange omuliro ogunayokya entimbe ezindobera okulaba obulungi Bwo, era eketangaala ekirinkulembera okuntuusa mu nnyanja y’okubeerawo Kwo.
Olwo ayimuse emikono gye nga yegayirira Katonda - Aweebwe omukisa era Agulumizibwe, era ayatule nti:
Ayi Ggwe Eyegombebwa ensi era Omwagalwa w’amawanga gonna! Ggwe ondaba ddala nga nkyukidde gyooli, era nga negye ku birala byonna wabula Ggwe, era nga nenyosezeza ku luwuzi Lwo olunyenya, bwe gunyenya, ebitonde byoona ne biyuguuma. Nze ndi muwereza Wo, Ayi Mukama wange, era omwana w’omuwereza Wo. Laba nyimiridde nga neteeseteese okukola Ggwe ky’oyagala era ky’osiima, era nga setaaga kirala kyonna wabula essanyu Lyo eddungi. Nkwegayirira kulw’ennyanja y’okusaasira Kwo n’omunyenye eye kisa Kyo okukozesa abaddu Bo nga bw’oyagala era nga bwosiima. Kulw’amannyi Go agatayogerekeka era agataytendeka! Ekyo kyonna kyoyolesa kwekwagamba kw’omutima gwange era kwe kusiima kw’omwoyo gwange. Ayi Katonda, Katonda wange! Totunuulira kusuubira kwange newankubadde ebikolwa byange naye tunulira okusiima Kwo okubunye eggulu n’ensi. Kulw’erinya Lyo erisinga amannya gonna, Ayi Ggwe Mukama w’amawanga gonna! Negomba ekyo kyoka Ggwe ky’osiima era njagala ekyo Ggwe kyoka gwe’ky’oyagala.
Awo afukamire avvuname nga ekyenyi kye kiri ku ttaka ayatule nti:
Ayi Ggwe mukukwawukana Ko emitima n’emyoyo mwegigwerimu amaanyi, era mu muliro gw’okwagala kwo ensi yonna mwekoleledde oluyiira n’ebengeya! Nkwegayirira kulw’erinya Lyo eriwangudde ensi yonna, oleme kunyima ekyo ekiri Nawe, Ayi Ggwe afuga abantu bonna! Ggwe olaba, Ayi Mukama wange, omugwira ono nga yeyuna okutuka mu makaage agasingira ddala ettendo wansi w’ekisikirize ky’Obwakabaka Bwo, era kumulirano gwo okusaasira kwo, omwononyi ono, nga anoonya ennyanja y’okusaasira Kwo, era omwetoddaze ono, okutuuka mu mbuga y’ekitiibwa Kyo; Omunkuseere ono mubuggaga Bwo. Obuyinza Bubwo okulagira nga bw’oyagala. Mpa obujuluzi nti otekeddwa okutenderezebwa mu bikolwa Byo, era okugonderwa mu biragiro Byo, n’okusigala nga tokugirwa mukulagira Kwo.
Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye waggulu, addingane emirundi essatu erinya erisingira ddala eryekitiibwa (Alláh-u- Abhá! Katonda yasinga bonna ekitiibwa) ate akutame nga emikono agitade ku mavivi ge mu maaso ga katonda - aweereddwa omukisa er’agulumizibwa – Ayatule nti :
Ggwe olaba, Ayi Katonda wange, nga emeeme yange etunduga mu nze, era mu kufaabiina kwaayo okukujukira n’okukutendereza. Nga eyayanira okukujukira n’okukugulumiza, era olaba bwekakasa ebyo olulimi olw’okulagira Kwo bye lukakasiza, mu bwakabaka bw’ebigambo Byo, era ne mu ggulu ly’okumanya Kwo. Njagala mu mbeera eno, Ayi Mukama wange, okukusaba ebyo byonna ebiri Naawe, ndyoke njolese obwavu bwange, ngulumize obugabi Bwo n’obuggaga Bwo, nangirire obuteesobola bwange, era njolese Okusobola Kwo n’obuyinza Bwo.
Olwo ayimirire, ayimuse emikono gye emirundi ebiri waggulu nga awanjagira omutonzi we ayatule nti:
Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, Omugabi wa byonna.
Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, omulagizi alagira ku ntandikwa ate ne ku nkomerero. Ayi Katonda, Katonda wange! Okusonyiwa Kwo kumpadde obuvumu era n’ekisa Kyo kimpadde amaanyi era n’okukowola Kwo kunzuukusiza, era n’ekisa Kyo kinkulembedde nekintuuza Gyoli. Nze ani singa tekiri bwekityo, eyandyanganze okwesimba ku wankaaki w’ekibuga okyokubeera okumpi nawe, era okutunuza amaaso gange eri ekitangaala ekyaaka okuva mu ggulu ly’okwagala Kwo? Ggwe olaba, Ayi Mukama wange ekitonde kino ekirema nga kikonkona ku lugi lwekisa Kyo, omwoyo guno ogugwaawo nga gunonya omugga ogwa mazzi ag’obulamu obutagwawo okuva mu ngalo zo ezigabirira. Okulagira kukwo ekiseera kyonna, Ayi Ggwe mukama ow’amanya gonna, era okwange, kwe kukugondera era n’okwetowaliza okusiima kwo, Ayi Ggwe omutonzi w’eggulu!
Ate olwo ayimuse emikono gye, emirundi essatu, ayatule nti:
Olwo afukamire, era avuname nga ekyenyi kye kiri ku ttaka, ayatule nti:
Oli mugulumivu nnyo okusinga okutendereza kwabo abali okumpi Nawe gyekuyinza okwambuka mu ggulu ly’okubeeera okumpi nawe, wadde emitima gyabo abewaddeyo gyoli okutuuka ku luggi lw’eggulu Lyo. Mpa obujulirwa nti ggwe watukuzibwa okusinga ebitukuvu byona byonna, era olimutukuvu okusinga amanya gonna. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, agulumizibwa ennyo,
Awo atuule wansi ayatule nti:
Mpa obujulizi kwekyo ebitonde byonna byebiwadeeko obujulizi, era neKibiina Kyabo abali waggulu, era nababeera eyo mu lusuku Lwo, oluli waggulu ennyo, ate okussukka ku bo, Olulimi Olwe Kitiibwa lwenyini, okuva mu bwengula obusingira ddala, kitiibwa nti Ggwe Katonda, nti tewali Katonda mulala wabula Ggwe, nti era n’oyo ayoleseddwa yewa magero omu kusike, akabonero ak’omuwendo, era Muye, enukuta, Ez’ekiragiro Eky’obutonzi B ne E (Wabeewo) mwezayungibwa era n’ezirukibwa wamu. Nkakasa nti yoyo erinya lye eryaweerezebwa wangi nakafumu k’Oyo ali wagulu ennyo, era Ayogerwako mu Bitabo bya Katonda, Mukama owa Nnamulondo ey’omuggulu, n’ekunsi.
Olwo oyimirire butengerera ayatule nti:
Ayi Mukama ow’ebitonde byonna era Nnanyini w’ebintu byonna ebirabika nebitarabika! Ggwe olaba amaziga gange, n’ebikkowe byenzisa, era owulira okukaaba kwange, n’okusinda era n’okukuba ebiwoobe kwange era nokwaziirana kw’omutima gwange. Olwamaanyi Go! Okwonona kwange kungaanye okusembera okumpi Nawe; era nebibi byange binkumiide wala okuva kuluja lwobutukirivu Bwo. Okwagala Kwo, Ayi Mukama wange, kungaggawazza, ate okwawu kana Ko ku nzi kirizza, era okubeera ewala okuva wali kumazewo. Nkwegayirira olwe enswagiro Zo mu ddungu lino, era olw’ebigambo; “Nze nzuuno, Nze Nzuuno” Abalonde Bo bye bogeredde mubwa guuga bensi eno, era ne kulw’omukka gw’okubikulirwa Kwo, n’empewo enteefu, ezamakya g’okubikulirwa Kwo, olagire nsobole okulaba ku bulungi Bwo, nokukuuma ebyo byonna ebiri mu Kitabo Kyo.
Olwo addingane Erinya Erisinga Ekitiibwa, (Alláh-u-Abhá!) emirundi essatu, akutame nga emikono gikute ku mavivi, ayatule nti:
Bwamala ekyo ayimirire, era akyusize amaaso ge eri ekifo ekitukuvu ekye Bahji Akká, ayatule nti:
Katonda akakasa nti tewali Katonda mulala wabula Ye yekka. Obwakabaka Bwe bwebw’okwo-lesebwa n’obutonzi. Bibye mu mazima ye yayolesa oyo entandikwa, yokwolesebwa eyayogerera ku. lusozi Sinayi, nga mu Ye, olukungirizi lw’eggulu ery’ekitiibwa, mwe lwayakayakanira, era n’omuti omutukuvu ogutayitwako mw’egwayogerera, era mu Ye, mwemwalangirirwa, eri abo abali mu guulu ne kunsi. “Laba Nnyini byonna azze. Eggulu n’ensi, Ekitiibwa n’Obwakabaka bya Katonda, Mukama Ow’abantu bonna, era nanyini Nnamulondo ey’omuggulu ne ku nsi!”
Era akutame nga akutte ku mavivi, ayatule nti:
Oli wattendo nnyo era Ossukulumye okusinga bwenyinza okukutendereza n’okutendereza kwabo abali okumpi nange, era n’okusinga bwenyinza okunnyonyola, wadde n’abo abali mu ggulu era n’abo abali ku nsi bwe bayinza okunyonyola. Olwo ayimirire nga ayanjuluzza engalozze n’ebibatu bye nga biri mu maaso g’ekyenyi kye, ayatule nti:
Tolebula Ayi Katonda wange, oyo eyekutte n’engalo ezegayirira, ku mukugiro gw’okusaasira Kwo n’ekisa Kyo, Ayi Ggwe, mubalaga ekisa, Asinga bonna ekisa.
Olwo atuule wanni, ayatule nti:
Mpa obujulizi ku bumu Bwo, n’obwa namunigina Bwo, nti Ggwe Katonda, era nti tewali Katonda mulala wabula Ggwe. Ddala ddala, Ggwe wenyini wabikula enzikiriza Yo, watuukiriza endagaano Yo, era n’oggulawo olujji lw’emikisa Gyo, eri abo bonna ababeera mu ggulu ne kunsi. Emikisa n’emirembe, okulamusa n’ekitiibwa bibeera eri abagalwa Bo, emikisa n’enkyukakyuka z’ensi be bitaziyizanga kukyukira Gyoli, era abawaddeyo ebyabwe byonna nga basuubira okufuna ekyo ekiri Gyoli. Mu mazima Ggwe bulijjo oli musonyiyi, era Omugabi wa byonna.
Singa omuntu yenna alondawo okuddamu ebigambo binno wamanga mu kifo ky’okusoma ennyiriri empanvu ezo: “Katonda akakasa nti tewali Katonda mulalu wabula Ye Yekka, Omuyambi mu kabi, eyemaririra”. Kibakimala alondawo okuddamu ebigambo bino wamanga nga atudde wansi; “Mpa obujulizi ku bumu Bwo n’obwa namunigina Bwo, era nti Ggwe Katonda, tewali Katonda mulala okugyako Ggwe wekka".
Ayi Ggwe Mukama asingira ddala ekitiibwa! Yamba omuzaana wo ono omulo okuba ow’omukisa era omusanyufu; muyambe okukuumibwa ku mufuubeeto gw’obumu Bwo, era omuyambe okunywa ku kikopo ky’okwagala Kwo, olwo akusibwe era asanyusibwe, asobole okubunyisa obuwoowo bwo obulungi. Ggwe oli w’Amaanyi, oli wa Buyinza, era Ggwe Omanyi byonna, era Olaba byonna.
Essaala eno esomerwa abo abasussizza emyaka ekumi n’ettano. Ye ssaala ya Baha’i yokka e’yeteeka esomebwa mu lujjuddee. Essoomebwa omukiriza omu nga abalala bonna bayimiridde. Tekyetaagisa kutunula mu nsi ntukuvu [Qjblih] nga essaala eno esomebwa. - Byava mu Kitáb’i’Aqdas –
Ayi Katonda wange! Ono ye muddu Wo, era omwana w’omuddu wo,akukkiririzaamu, era nemububonero Bwo, akyukidde gyoli nga yegye ku birala byonna wabula Ggwe. Ddala ddala, Ggwe mu balaga ekisa, Ggwe osingira ddala ekisa.
Omusonyiwe, Ayi Ggwe omusonyiyi w’ebyonoono by’abantu bonna, era akisa ebibi byabwe, nga bw’ekisaanira eggulu ly’ekisa Kyo, era ne’nnyanja y’emikisa Gyo. Omukirize okutuuka mu ggulu ly’ekisa Kyo, ekyatiwo nga eggulu n’ensi tebinabaawo. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Asonyiwa bulijjo, Omugabi wa byonna.
Olwo addingane emirundi mukaaga okulamusa kuno Alláh-u-Abhá! Ate emirundi kuminamwenda, buli lunyiriri ku zino eziddirira:
Mazima ffena ddala tusinza Katonda.(x19)
Mazima ffena ddala tuvunama mu maaso ga Katonda. ( x19)
Mazima ffena ddala twewaddeyo eri Katonda. (x19)
Mazima ffena ddala tutendereza Katonda. (x19)
Mazima ffena ddala twebaza Katonda. ( x19)
Mazima ffena ddala tuli baguminkiriza mu Katonda. ( x19)
*(Omufu bwaba nga mukazi, olwo asoma agambe nti, ono muzaana wo, era omwano w’omuzaana wo, …)
Ayi Katonda, Katonda wange! Ggwe oli ssuubi lyange, era omwagalwa wange, Ekigendererwa kyange ekisingira ddala era okwegomba kwange okusingira ddala. N’obwetowaze obusuffu, n’okukusinziza ddala, nkusaba onfuule nga omunaala ogw’okwagala Kwo mu nsi Zo, nga etabaaza ey’okumanya Kwo mu bitonde Byo, nga ebendera y’omukisa Gwo omutukuvu mu Bwakabaka Bwo. Ombalire mu bawereza Bo abegye ku birala byonna wabula Ggwe, abetukuzza, okuva ku bintu by’ensi eby’oluwunguko, era nebesamba amaloboozi gabo abogera ebitaliimu nsa. Omutima gwange gubugaanye essanyu, nga oyita mu mwoyo ogw’okukakasibwa mu bwakabaka Bwo, era osanyuse amaaso gange nga galaba bamalayika Bo abayambi obutasalako, nga bakka gyendi, okuva mu Bwakabaka bw’ekitiibwa ky’amaanyi Go.
Ggwe mu mazima ddala Oli wamaanyi, Nnyini kitiibwa kyonna, Ayinza byonna.
Ngolokokedde mu bukuumi Bwo, Ayi Katonda wange, era nga kimugwanidde oyo anonya obukuumi Bwo, okunyweerera mu kifo Kyo ekitukuvu, ky’Okuuma, era mu kigo Kyo ekikuumibwa. Osanyuse omutima gwange Ayi Mukama, n’okumasa-masa kw’omusana gw’okubikulirwa Kwo, era nga bw’ewasanyusa obulamu bwange n’omusana ogw’okunkya ogw’okusiima Kwo.
Ayi Katonda wange, nkusaba kulw’erinya Lyo erisingira ddala ekitiibwa, onyambe mw’ebyo ebinaleetera emirimu gy’abaddu Bo okugenda mu maaso, era n’ebibuga Byo, okukulakulana. Ggwe mu mazima oli na obuyinza kubintu byonna.
Ayi Mukama wange era essuubilwange! Yamba abagalwa bo okubaabanywevu mu Ndagaano Yoey’amaanyi, babeere bamazima muNzikiriza Yo, era batuukirizeamateeka Go nga bwebagawandiika mu Kitabo ky’ekitangaata Kyo; Bafuuke bendera elungamya, era ettabaaza z’abatuuze b’eyo waggulu, enkuluze z’amagezi Go agatakoma, era emmunyenye ezirungamya obutuufu, nga bwezaaka okuva mu bwengula obusingira ddala. Ddala ddala, Ggwe towakanyizibwa, Oli w’amaanyi, Oliwa buyinza.
Ngolokose enkya ya leero lwa kisa Kyo, Ayi Katonda wange, era nvuddemumaka gange nga nesigira ddala Ggwe, era nga newaddeyo mu mikono gyo okunkuuma. Bwotyo okuva mu ggulu ly’ekisa kyo, ompereze omukisa oguva Gyoti, era onsobozese okudda eka mu mirembe nga bw’onsobozeseza okuvaayo mu bukuumi bwo, ebirowoozo byange byonna nga mbitadde mu Ggwe. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe wekka, Omu, Atagerageranyizibwa, Amanyi byonna, Asinga bonna amagezi.
Ayi Katonda, Katonda wange! Nvudde mumaka gange, nga n’ekwatidde ddala ku wwuzi y’okwagala Kwo, era nga newereddeyo ddala mu bukuumi Bwo. Nkusaba kulw’amaanyi Go, mwe wakuumira abagalwa Bo okuva eri abagyemu n’abanyoomi, abanyigiriza, era nababi abaabula okuva Gyoli, onkuume kulw’ekisa Kyo n’obuyambi Bwo. Onyambe nate, okudda mu maka gange obulungi, kulw’amaanyi Go, n’obuyinza Bwo. Ggwe mu mazima Oli wa buyinza, Omuyambi mu kabi, Eyemalirira.
Mukungaanire wamu, mu ssanyu eritalinaamu nnyike, Olwo ku ntandikwo Y’olukkungaano lwamwe musome essaala eno:
Ayi Ggwe Mukama ow’obwakabaka! Wadde nga emibiri gyaffe gikungaanidde wamu, naye emitima gyaffe, giweddemu ne gitwalibwa okwagala Kwo, era ne tusanyusibwa amaaso Go ag’ekisa. Wadde nga tuli banafu, tulindirira okubikkulirwa amaanyi ag’obuyinza Bwo. Wadde nga tuli bankuseere abatalina kantu wadde akatono, naye era tufuna eby’obugagga, okuva mu mawanika g’obwakabaka Bwo. Wadde nga tuli nga amatondo, naye era tusena okuva mubuziba bw’ennyanja Yo, wadde nga tuli nga obuwojjolo, naye obutangiavu bwaffe, bulabikira mu kitiibwa ekY’omusana Ggwo.
Ayi Ggwe omugabirizi, tuwereeza obuyambi Bwo. Olwo buli omu kuffe abakungaanidde wano, afuuke nga ettawaza, buli omu abeere nga ensibuko esikiriza era buli omu afuuke omulangirizi mu bw’akabaka Bwo obw’omuggulu, okutuuka lwetutifuula ensi eno okubeera nga endabirwamu ey’olusuku Lwo olwomu ggulu.
Essaala eno, esomwa okugalawo olukungaana lw’ekibiina Ky’omwoyo.
Ayi Katonda! Ayi Katonda! Okuva mu bw’aKabaka bw’obumu Bwo, tutunulire ffe ab’akungaanye mu lukungaana luno, olw’omwoyo, nga tukiriza mu Ggwe, nga tulina obwesige mu bubonero Bwo, ab’anyweevu m u Ndagaano n’eddaame Lyo, nga tusembezebwa gyooli, aga twaaka n’omuliro gw’okwagala Kwo, era nga tuli ba mazima mu Ddiini Yo. Tuli bawereza Bo mu lusuku Lwo olw’emizabibu, ababunya Eddiini Yo, ab’akusinza abawombeefu, ab’akugondera mu maaso g’oluji Lwo, nga tukwegayirira okutukkakasa mu buwereza Bwo, mu bantu Bo abalonde. Otuyambe ne bamalayika Bo, ab’atalabika. Nyweza ebimyu byaffe mu buwereza Bwo era otufuule abantu Bo abawulize abakusuuta nga tunyumya naawe.
Ayi Katonda waffe! Tuli banafu, Ggwe Oli w’amaanyi, Ow’obuyinza Tuli Bafu, era Ggwe Oli Omwoyo Ogw’ekitiibwa oguwa obulamu! Tuli betaavu, naye Ggwe atuwa byetwetaaga era ow’amaanyi!
Ayi Mukama waffe! Amaaso gaffe gakyuse gatunuulire obwenyi Bwo, obw’obwakabaka; otuliise okuva ku meeza Yo eyo mu Ggulu, n’ekisa Kyo ekingi; Otuyambe wamu n’ekibiina eky’abamalayika Bo abakulu, era otukakase nga oyita mu batukuvu Bo ab’obwakabaka obwomu ggulu.
Ddala ddala, Ggwe Oli Mugabi, atukwatirwa ekisa, Ggwe alina ebirungi byonna, era ddala Oli Musonyiyi, era ow’ekisa.
Ayi Ggwe Katonda atagerageranyizibwa! Ayi Ggwe Mukama ow’obwakabaka! Emyoyo gino lye gye. Lyo elyomu ggulu. Giyambe era awamu ne bamalayika Bo abomu ggulu, bafuule bawanguzi; buli omu kubo, afuuke nga egye, era awangule ensi zino nga ayita mu kwagala kwa Katonda n’okutangaazibwa kw’enjigiriza entukuvu. Ayi Katonda! Beera omuwanirizi wabwe era omuyambi wabwe. Mu nkoola, mu nsozi mu biwonvu, mu bibira, mu nsenyi, era ne ku nnyanja, beera obwesige bwabwe balyoke bogerere waggulu mu buyinza bw’obwakabaka. Bwo era ne mu mukka ogw’Omwoyo. Omutukuvu Ddala ddala.
Ggwe Oli wa Buyinza, Owa Maanyi, Ayinza byonna, Oli wa Magezi, Awulira era Alaba.
Ayi Katonda omusaasizi! Nkwebaza olw’okunzukusa era n’onfuula atageera. Ompadde eriiso eriraba, era n’ompa n’okutu okuwulira. Ontute mu bwakabaka Bwo era onkulembedde mu kubo Lyo. Ggwe ondaze ekkubo etuufu, era n’onyamba okuyingira mu Kyombo ky’okutokolebwa. Ayi Katonda! Onkuume obutasagasagana ate ongumye era onyambe okuba omunyweevu. Onkuume okuva eri ebikemo eby’amaanyi, era onywereze mu kigo Kyo ekinyweevu eky’amaanyi, eky’Endagaano Yo n’eddaame Lyo. Ggwe Oli wa buyinza, Ggwe Alaba, era Ggwe Awulira.
Ayi Ggwe Katonda omusaasizi! Ontonere omutima ogufanana ng’endabirwamu, oguyinza okutemagana n’omusana ogw’okwagala Kwo, era ompe ebirowoozo ebiyinza okukyusa ensi eno okugifuula olusuku olulungi olw’ebimuli nga oyita mu kugaba Kwo okw’omwoyo n’ekisa.
Ggwe Oli Musaasizi, Ow’ekisa, Ggwe Katonda Asingira ddala obugabi.
Ayi Katonda! Omwana ono omuto mulerere mu kwagala kwo era omugabirire amabeere agava mu bbeere ly’obwakatonda Bwo. Simbaekisimbe kino ekijja mu nnimiro yo ey’ebimuli by’okwagala Kwo era okikuze n’oluwandagirize oluva mu bire by’ekisa kyo. Mufuule omwana ow’Obwakaka Bwo, era omukulembere okutuuka mu bw’akabaka Bwo obw’omu Ggulu. Ddala ddala Ggwe oli wa buyinza, era Ow’ekisa! Ggwe oli Mugabi, Omutonyi, era Ow’ekisa ekitagerageranyizibwa.
Ayi Katonda, Katonda wange! Sanyusa emitima gy’abagalwa Bo era obayambe nga oyita mu bamalayika Bo ab’obuwan guzi obutakugirwa. Lungamya ebigere byabwe mu kkubo Lyo eggolokofu, era okuva mu mukisa Gwo ogw’emirembe egyedda, baggulirewo emiryango gy’emikisa gyo; kubanga basasaanyiza ku by’obugagga bwabwe bye wabawa, mu kkubo Lyo, nga bakuuma enzikiriza Yo, era nga bateeka obwesige bwabwe mu kukujukira Ggwe, era nga tebakodowalira ebyo Ggwe by’ewabawa, kulw’okwagala obulungi Bwo era n’okunoonya ebyo ebikussanyusa. Ayi Mukama wange! Obatekeretekere omugabo Gwo ogwemala, o’okubaweera.
Ddala ddala, Ggwe oli Muwanirizi, Oli Muyambi, Oli Mugabi, Oli wa mukisa, Agaba bulijjo.
Erinya Lyo kwe kuwona kwange, Ayi Mukama wange, era okukujukira, lye ddagala lyange. Okubeera okumpi Nawe ly’essuubi lyange, era n’okukwagala, ye munywanyi wange. Okusaasira Kwo gyendi kwe kusuuka kwange, era okubeerwa kwange mu nsi eno ne munsi erijja. Ggwe mu mazima ddala Oli mugabi wa byonna, Amanyi byonna, Kagezi munyu.
Ayi Katonda wange era Mukama wange! Ndi muddu Wo era omwana w’omuddu Wo. Ngolokose okuva ku kigugu kyange ku makya gano nga omusana gw’obumu Bwo, gwase okuva ku kitangaala ky’okusiima kwo, era ne gwakiza ekitangaala kyagwo eri ensi yonna, okusinziira kwebyo ebyawandiikibwa mu Bitabo byokulagira Kwo.
Ettendo libe Gyoli, Ayi Katonda kubanga tugolokokedde mu kumasamasa kw’amagezi Go. Tuwereze Ayi Mukama, ekyo ekinatuyamba okweja ku mulala yenna wabula Ggwe, era n’okwesamba buli kirala kyonna okugyako Ggwe. Nate ompandiikire awamu n’abo abagalwa bange, n’abenganda zange, abasaija n’abakazi, ebirungi eby’omunsi eno, n’emunsi egenda okuja. Otukuume mu bukuumi Bwo obutalemwa, Ayi Ggwe omwagalwa w’ebitonde byonna, era eyegombebwa ensi eno yonna, okuva kwabo Ggwe be wafuula okuba abogerera obwama obubi mu mitima gy’abantu. Ddala ddala, Ggwe Olina obuyinza okukola ky’oyagala, ddala ddala Ggwe Oli w’amaanyi, Omuyambi mu kabi, Eyemalirira.
Omuwe omukisa, Ayi Mukama Katonda wange, Oyo Ggwe gwewasukulumya mu bitiibwa Byo byonna. Era nga mu ye mwoyawulira wakati w’abalungi n’ababi, era olw’ekisa Kyo, otuyambe okukola ekyo Ggwe kyoyagala era ky’osiima.
Nate era, wa omukisa, Ayi Katonda wange, abo ebigambo Byo era n’ennukuta Zo, era abakyusiriza amaaso gaabwe eri Agago, ne bawulira eddoboozi Lyo.
Ggwe mu mazima, Ggwe Mukama era Kabaka w’abantu bonna, era oli wa buyinza, eri ebintu byonna.
*" …Abakuumi abakulu ab’enzikiriza ya Bahá’u’lláh, ekyali ento, baweereddwa emirimu ebiri, okuvo mu kafumu akatakola nsobi aka ‘Abdu’l-Bahá. Ogw’okubunyisa n’ogw’okukuuma Enzikiriza ya Kitaawe. “- Shoghi Effendi -Messages to the Bahá’í World
Omusana n’ekitiibwa, okulamusa n’ettendo bibeere eri Empagi z’enzikiriza Ye, mu bo, ekitangaala ky’obuvumu, mwe kirabikidde, era n’amazima ne geragira ddala, nti obuyinza obw’okubalonda buva wa Katonda, Ow’amaanyi, Ow’obuyinza, Atagerageranyizibwa, mu Ye ennyanja y’omukisa ebimbye, era n’akawoowo k’omukisa gwa Katonda, Mukama ow’ensi zonna, mwe kawunyiriziddwa. Tumusabe -Agulumizibwe- abakuume nga ayita mu buyinza bwa bamalayika Be, Abakuume nga ayita mu maanyi g’obwakabaka Bwe era abayambe nga ayita mu maanyi Ge agatalemwa, ago agabunye ebitonde byonna. Obwakabaka bwa Katonda, Oyo omutonzi w’eggulu, era Mukama ow’Obwakabaka obw’amanya.
NOT a prayer. Shoghi Effendi quote about the Hands of the Cause and their duties -- "The senior Hands of the Cause of Baha'u'llah, whose faith was tested by 'Abdu'l-Baha, were given two tasks, from the infallible pen of 'Abdu'l-Baha..." Compilation/administrative text.
NOT a prayer. Instructions about healing prayers: "Prayers that are said for healing are used for praying for healing of body and soul. Therefore say for healing of soul and body." Instructional text, not a prayer -- no Phelps code appropriate.